Hosea 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ez'okubonereza zituuse; ennaku ez'okuwa empeera zisembedde; Yisirayeli ategeere. Omulanzi ayitibwa musiru, abuulirwa Mwoyo atwalibwa ng'omulalu, kubanga ebyonoono byammwe bingi, n'obukyayi bwammwe buyitiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku ez’okubonerezebwa zijja, ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi. Ekyo Isirayiri akimanye. Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo, n’obukambwe bwammwe obungi, nnabbi ayitibwa musirusiru, n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya. Nnabbi musirusiru, omusajja aliko omwoyo alaluse, olw'obutali butuukirivu bwammwe obungi, era n'obukyayi obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera eky'okubonererezaamu kituuse. Kye kiseera, abantu mwe banaafunira ekibagwanira, era Yisirayeli ajja kukimanya. Mujja kugamba nti: “Omulanzi musirusiru. Omusajja ono afuuyirirwa mwoyo, alaluse.” Mugamba bwe mutyo, kubanga ekibi kyammwe kinene, era obukyayi bwammwe bungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya: nnabbi musirusiru, omusajja alina omwoyo alaluse, olw'olufulube lw'obutali butuukirivu bwo, era kubanga obulabe bungi.