Hosea 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi ye kalabaalaba wa Efurayimu, abantu ba Katonda wange, naye ebitimba bimulindiridde mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba y'Omukama mwennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi awamu ne Katonda wange ye mukuumi wa Efulayimu, newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye, n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi ye mukuumi wa Efulayimu, abantu ba Katonda wange, songa ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze mulanzi, Katonda gw'atumye okulabula abantu be Abayisirayeli. Naye buli we ndaga, bantega emitego, ng'abatega ekinyonyi. Ne mu nnyumba yennyini eya Katonda, abantu balabe ba mulanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu yabanga mukuumi eri Katonda wange: nnabbi, ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda we.