Isaiah 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Enkumuliitu y'ebitambiro byammwe bye biki ku nze?” Omukama bw'agamba. “Ebitambiro byammwe ebyokye nfunye ebimmala, eby'endiga n'ensolo ensava; omusaayi gw'ente, ogw'endiga n'ogw'embuzi ennume tebikyansanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ssaddaaka enkumu ze munsalira zingasa ki? Nkooye endiga ennume enjokye eziweebwayo, so sisanyukira musaayi gwa nte, newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira? bw'ayogera Mukama; Nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo zammwe ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, oba ogw'endiga, oba ogw'embuzi ennume,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ebitambiro byammwe ebingi, bingasa ki? Neetamiddwa ebitambiro ebyokebwa eby'endiga ennume, n'amasavu g'ensolo zammwe ezassava. Saagala musaayi gwa nte, wadde ogw'endiga ento, n'ogw'embuzi ennume.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira, bw'ayogera Mukama: nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, newakubadde ogw'abaana b'endiga, newakubadde ogw'embuzi emmandwa.