Isaiah 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe munaagololeranga gye ndi emikono gyammwe, njanga kuggyawo amaaso; ne bwe munaasabanga ebingi, sijjanga kuwuliriza; emikono gyammwe gijjudde omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnaabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo siiwulirenga kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo ssiiwulirenga emikono gyammwe gijjude omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“N'olwekyo bwe munaagololanga emikono gyammwe nga muliko kye munsaba, sijjanga kubatunuulira, era ne bwe munaasabanga okwenkana wa, sijjanga kuwuliriza, kubanga engalo zammwe zisaabaanye omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaayanjalanga engalo zammwe, naabakwekanga amaaso gange: weewaawo, bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi.