Isaiah 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ggulu, wulira! Ggwe nsi, tega okutu! kubanga Omukama agambye nti: “Nayola abaana ne mbakuza, naye banjeemedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi, kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti, “Nayonsa ne ndera abaana naye ne banjeemera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wulira, ggwe Eggulu, era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nnayonsa ne ndera abaana, naye ne banjeemera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yagamba nti: “Ggwe eggulu wulira, naawe ensi tega okutu, muwulirize kye ŋŋamba! Abaana be nayola ne mbakuza, banjeemedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wulira ggwe Eggulu era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nayonsa ne ndera abaana, ne banjeemera,