Isaiah 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bwe munaawaganyala ne mujeema, ekitala kijja kubawemmenta; kubanga akamwa k'Omukama koogedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye bwe munaagaananga ne mujeemanga ekitala kinaabalyanga,” kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala; kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe muneeremanga ne mujeema, munattibwanga. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.