Isaiah 1:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba ekibuga ekyesigwa bwe kifuuse malaaya! Edda kyali kijjudde obutuukirivu, obutuukirivu nga busula mu kyo, kati kijjudde batemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba ekibuga ekyesigwa bwe kifuuse ng’omwenzi! Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya! Obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano batemu bennyini nnyini!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga amazima! obutuukirivu bwatulanga mu ye, naye kaakano kirimu bassi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ekyali ekyesigwa, nga kifuuse ng'omukazi omwenzi! Edda ekyali kijjuddemu abantu abagoberera obwenkanya era abakola ebituufu, kaakati kirimu batemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga emisango egy'ensonga! obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano bassi.