Isaiah 1:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu bo bafuuse bajeemu, bafuuse mikwano gya babbi; bonna balulunkanira nguzi, banoonya kusasulibwa; tebataasa bamulekwa, n'ensonga za nnamwandu tezibatuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafuzi bo bajeemu, mikwano gya babbi, bonna bawoomerwa enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebayamba batalina ba kitaabwe, so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi. Buli muntu yeegomba enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebalwanirira atalina kitaawe, n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gyebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze bo bajeemu, era mikwano gya babbi. Bafa ku nguzi na ku birabo ebibaweebwa. Tebafaayo kulwanirira bamulekwa, wadde okuwuliriza bannamwandu bwe baleeta ensonga zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi; buli muntu yeegomba enguzi, era agoberera empeera: tebasala musango gw'atalina kitaawe, so n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gye bali.