Isaiah 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, Omukama Katonda w'Amagye, Omuyinza wa Yisirayeli, agamba nti: “Nzija kwemala eggoga ku balabe bange, ekiruyi nzija kukimalira ku bankyaye;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye, ow’amaanyi owa Isirayiri nti, “Ndifuka obusungu ku balabe bange, era ne nesasuza abo abankyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Ow'amaanyi owa Isiraeri, nti, “Nja kufuka obusungu ku abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye, Omuzira wa Yisirayeli, agamba nti: “Nja kuwoolera eggwanga ku mmwe abalabe bange, muleme kuddayo kuntawaanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Owaamaanyi owa Isiraeri, nti A, ndyeggyako abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa: