Isaiah 1:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukulwanyisa n'omukono gwange, nzija kukusaanuusaako amasengere, nkutukuzeeko ekko lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikukwatamu n’omukono gwange, ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, nkufuule ekintu ekirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kubakolako, mbasengejje ng'ekyuma bwe kisengejjebwa, mbamalemu obukyafu bwammwe bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, ne nziyawo essasi lyo lyonna: