Isaiah 1:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalamuzi bo nzija kubazzaawo nga bwe gwali mu kusooka, n'ababuulirizi bo nga bwe gwali luli. Olwo ojja kuyitibwa Kibuga ky'Obutuukirivu, Kibuga Ekyesigwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka. Olwo olyoke oyitibwe ekibuga eky’obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka; oluvannyuma oliyitibwa kibuga kya butuukirivu, ekibuga ekyesigwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kubawa abakulembeze n'abawi b'amagezi abalungi, nga bali be mwalina edda. Olwo Yerusaalemu kiriddamu okuyitibwa ekitukuvu era ekyesigwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka: oluvannyuma oliyitibwa nti Ekibuga eky'obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.