Isaiah 1:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abajeemu n'aboonoonyi balizikirizibwa wamu, n'abo abesammula Omukama balisaanawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu, n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abajeemu n'abalina ebibi balizikiririra wamu, n'abo abaleka Mukama balimalibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula abajeemu n'abakola ebibi, balizikiririzibwa wamu, era n'abo abeggya ku Mukama, balimalibwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okuzikirira kw'aboonoonyi n'abalina ebibi kulibeera wamu n'abo abaleka Mukama balimalibwawo.