Isaiah 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ente etegeera nnyiniyo, n'endogoyi emmanvu ya mukama waayo, naye Yisirayeli tamanyi; abantu bange tebaategeera kantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente emanya nannyini yo n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo, naye Isirayiri tammanyi, abantu bange tebantegeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya Mukama waayo; naye Isiraeri tammanyi, abantu bange tebalowooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekifo mukama waayo w'agiriisiza, naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli, okumanya kwabwe tekutuuka awo. Abantu bange tebalowooza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo: naye Isiraeri tamanyi, abantu bange tebalowooza.