Isaiah 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuva mu mala g'ebigere okutuuka mu kawompo, tewali walamu; wabula ebiwundu, ebinuubule, n'amabwa amaggya; si binyige, si bisibeko ddagala, si biweweeze na kazigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, n’okuzimba, n’amabwa agatiiriika amasira agatanyigibwanga, okusibibwa, wadde okuteekebwako eddagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa agatirika omusaayi, agatanyigibwanga, agatasibibwanga, wadde okusiigibwako eddagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, tolinaawo katundu kalamu. Ojjudde binuubule, bikalabule, na biwundu. Ebiwundu byo si binaaze, wadde okusibibwako akawero. Tewali ddagala libiteekeddwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe temuliimu bulamu; wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa amavundu: tebibunizibwanga so tebisibibwanga so tebiteekebwangamu mafuta.