Isaiah 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yammwe matongo, ebibuga byammwe byokeddwa; ensi yammwe abagwira bagirya mulaba, erekeddwa busa ng'omulabe gy'azikirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro, nga nammwe bennyini mulaba. Bannamawanga balidde ensi yammwe, era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; Ensi yammwe, ab'amawanga bagiwamba nga mulaba, ne basaanyawo byonna ebigirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi yammwe yonna efuuse matongo, n'ebibuga byammwe byokeddwa omuliro ne bisirikka. Abagwira balumbye ensi yammwe ne bagiwamba, era ne bazikiriza ebirimu, mmwe nga mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi yammwe ezise; ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; ensi yammwe, ab'amawanga bagiriira mu maaso gammwe, era ezise, kubanga ab'amawanga bagisudde.