Isaiah 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa Siyoni asigadde awo ng'ekittuluze mu nnimiro y'emizabbibu, ng'akasiisira k'omukuumi mu nnimiro ya wujju, ng'ekibuga ekizingiziddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala wa Sayuuni alekeddwa ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu, ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu, ng’ekibuga ekizingiziddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuwala wa Sayuuni alekeddwa ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekiwumulirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingiziddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siyooni kisigadde ng'akasiisira akali mu nnimiro y'emizabbibu, ng'ekiyumba ekikuumirwamu ennimiro y'emyungu, oba ng'ekibuga ekizingiziddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuwala wa Sayuuni asigadde ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekikuumirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingizibwa.