Isaiah 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abateeka amateeka amabi, n'abo abafulumya ebiwandiiko ebinyigiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n'abawandiisi abawandiika ebinyigiriza abantu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, ne muwandiika ebinyigiriza abantu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga butuukirivu, n'abawandiisi abawandiika obukyamu: