Isaiah 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bw'alimala okumaliriza omulimu gwe gwonna ku lusozi Siyoni ne mu Yeruzaalemu, olwo alibonereza kabaka wa Assuri olw'ebikolwa by'okwekuza kw'omutima gwe awamu n'entunula ey'olunkulu mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, n'alyoka abonereza kabaka w'e Bwasuli, olw'amalala n'okwegulumiza kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Afugabyonna agamba nti: “Bwe ndimaliriza kye nkola ku Lusozi Siyooni ne ku Yerusaalemu, ne ndyoka mbonereza kabaka w'Assiriya olw'okwewaana n'okwekuza kwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyekiriva kituuka, Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, me ndyoka mbonereza ebibala by'omutima omukakanyavu ogwa kabaka w’e Bwasuli, n'amalala g'amaaso ge amagulumivu.