Isaiah 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga agamba nti: “Ekyo nkikoze n'amaanyi g'emikono gyange, n'amagezi gange, kubanga ntegeera. Nzijuludde ensalo z'amawanga, obugagga bwabwe mbunyaze; nga kirimaanyi, nfufuggazza abawaŋŋamye ku nnamulondo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yayogera nti, “ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange, era n’olw’amagezi gange, kubanga ndi mukalabakalaba: Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe, ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga agamba nti, “Bino byonna mbikoze lw'amaanyi gange, lw'amagezi gange, n'abukalabakalaba bwange. Najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwago, era ng'omusajja ne ntowaza bakabaka baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga agamba nti: ‘Ekyo nze nakikola. Ndi wa maanyi, ndi mugezi, era ndi mukalabakalaba. Naggyawo ensalo z'amawanga, ne nnyaga ebyobugagga byago, era ng'omusajja kirimaanyi, ne nninnyirira abatuuze baayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yayogera nti Olw'amaanyi g'omukono gwange nakikola, n'olw'amagezi gange; kubanga ndi mukabakaba: era najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwabwe, ne ntoowaza ng'omusajja omuzira abo abatuula ku ntebe: