Isaiah 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gwange gukutte obugagga bw'amawanga ng'agwikirizza ekisu; ng'amagi agalekeddwa awo bwe gakuŋŋaanyizibwa, nange ensi yonna bwe ngikuŋŋaanyizza ntyo; tewabadde apaapaaza biwaawaatiro, ayasamya kamwa yadde akkokkoleza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omuntu bw’akwata mu kisu, omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga; ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo, bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna, tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro, newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga ag'omu nsi nnasanganga gali ng'ekisu ky'ennyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro kyakyo, wadde okwasamya akamwa kakyo okukaaba okukanga!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga mu nsi yonna nasanga gali ng'ekisu ky'ekinyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro, wadde ekyasamya kamwa okukaaba okukanga!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era omukono gwange guvumbudde obugagga obw'amawanga ng'ekisu; era ng'omuntu bw'akuŋŋaanya amagi amazire, bwe ntyo bwe naakuŋŋaanyanga ensi zonna: so tewali eyayanjuluza ekiwaawaatiro, newakubadde eyayasamya akamwa, newakubadde eyakaaba.