Isaiah 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embazzi eyinza okwewanika ku oyo agiwuuba, yadde omusumeeni okwewaanira ku oyo agusazisa? Kyandibadde ng'embuukuuli okuwuuba oyo agisitudde, oba ng'omuggo okugalula oyo atali muti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa? Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa? Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa, oba omuggo okusitula oyo atali muti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embazzi eyinza okwewaana nti yeesiga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza okusinga oyo agusazisa? Gy'obeera nti oluga luyinza okuwuuba oyo alukozesa, oba omuggo okusitula omuntu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embazzi eyinza okwewaana nti ye esinga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza ku muntu agusazisa? N'oluga si lwe luwuuba oyo alukwata, wadde omuggo okusitula omuntu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Embazzi eryenyumiriza eri oyo agitemya? omusumeeno gulyekuza eri oyo agunyeenya? kwenkana oluga nga lunyeenyezza abo abalulonda, oba omuggo nga gusitudde atali muti.