Isaiah 10:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo nno Omukama Katonda w'Amagye, agenda kusindikira abatabaazi be abaggumivu endwadde ezikonvubya; ate wansi w'ekitiibwa kye walyaka omuliro ng'okwaka kw'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna, kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja, era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro ogwokya ng’oluyiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obulwadde obukozza mu basajja be abalwanyi abamaanyi, era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye alisindika obulwadde obukozza mu basajja abagevvu aba kabaka w'Assiriya. Era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obukovvu mu basajja be abagevvu; era wansi w'ekitiibwa kye we alikolera okwokya ng'okwokya kw'omuliro.