Isaiah 10:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alizikiriza ettendo ly'ekibira kye n'ettaka eggimu, omubiri n'omwoyo, ng'omulwadde bw'agenda akogga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye, n’ennimiro ze, engimu, ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa ky'ekibira kye, n'ennimiro ye engimu, Mukama alibisaanyizaawo ddala, obulamu era n'omubiri, ng'omusajja omulwadde bwaggwerawo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alizikiriza eggye eriri ng'ekibira n'ennimiro eŋŋimu, ebiweesa Assiriya ekitiibwa, n'asaanyaawo obulamu n'omubiri, ng'ekirwadde kattira bwe kizikiriza omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alimalawo ekitiibwa ky'ekibira kye, n'eky'ennimiro ye engimu, obulamu era n'omubiri: kale kiriba ng'omukwasi w'ebendera bw'azirika.