Isaiah 10:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo abaliba basigaddewo mu Yisirayeli ne bakaawonawo ba Yakobo, tebaliddayo kwesiga oyo eyabakuba, wabula bajjanga kwesiga Mukama mu mazima, Oyo Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri, n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo nga tebakyeyinulira ku oyo eyabakuba naye nga beesigama ku Mukama Katonda, omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kirituuka, abo abaliba basigaddewo ku Bayisirayeli, abawonyeewo ku bazzukulu ba Yakobo, ng'obwesige bwabwe tebakyabuteeka mu ggwanga eryo eryabawangula, wabula nga mu mazima babuteeka mu Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)