Isaiah 10:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaliba basigaddewo balikomawo, abaliba basigaddewo mu nnyumba ya Yakobo, balidda eri Katonda ow'Amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu ekirifikkawo, ekirifikkawo ku nnyumba ya Yakobo, kiridda eri Katonda ow'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abatonotono abaliwonawo ku bazzukulu ba Yakobo, balidda eri Katonda ow'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekirifikkawo ku Yakobo, eri Katonda ow'amaanyi.