Isaiah 10:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli, abantu bo ne bwe baliba ng'omusenyu gw'oku nnyanja, abaliba basigaddewo be balidda. Okumalirizibwa okulangiriddwa, obutuukirivu bulibooga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja, abalikomawo nga balamu baliba batono. Okuzikirira kwo kwa kubaawo kubanga kusaanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newaankubadde nga kaakano abantu ba Isiraeri bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, naye kitundu butundu ku bo ekirifikkawo kye kirikomawo: kubanga Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nga kaakano Abayisirayeli bangi ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja, naye kitundu butundu ekiriwonawo ku bo kye kirikomawo. Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abantu bo Isiraeri newakubadde nga baliba ng'omusenyu ogw'ennyanja, kitundu butundu ekirifikkawo ku bo kye kirikomawo: okutuukiriza kwateesebwa, okusukkirira n'omusango ogw'ensonga.