Isaiah 10:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda w'Amagye, wa kutuukiriza ekirangiriro kino ku nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala Mukama ow'eggye alireeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga ye bwe yategeka kibeere wakati mu nsi yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye ajja kuleeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga bwe yategeka okukikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okukomekkereza, era okwateesebwa, Mukama, Mukama ow'eggye kw'alikola wakati mu nsi yonna.