Isaiah 10:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera ekyo, Omukama Katonda w'Amagye agamba nti: “Bantu bange, mmwe abali mu Siyoni, muleke kutya Bassuri; bajja kubakubisa mbuukuuli, babagalulire omuggo nga Abamisiri bwe baakola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti, “Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni, temutyanga Abasuli, newaakubadde nga babakuba n’oluga era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo Mukama, Mukama ow'eggye agamba nti, Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli, newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugololera omuggo ng'Abamisiri bwe baabakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye agamba nti: “Mmwe abantu bange, ababeera mu Siyooni, temutya Bassiriya, newaakubadde nga babanyigiriza ne babatulugunya, ng'Abamisiri bwe baakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye nti Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli: newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugalulira omuggo gwe, ng'empisa y'e Misiri bw'eri.