Isaiah 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye mu kabanga katono ddala obusungu bwange bujja kukoma, ate nkyusize obuswandi ku bo okubazikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mu kaseera katono nnyo obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, obusungu bwange gyoli bukome, ate obusungu bwange budde ku bo bazikirizibwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, ndekere awo okubasunguwalira mmwe, olwo bo obusungu bwange bulyoke bubazikirize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga akaseera kakyali katono nnyo, okunyiiga kulyoke kutuukirizibwe n'obusungu bwange mu kuzikiriza kwabwe.