Isaiah 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulikola mutya ku lunaku lw'ekibonerezo, okuzikirira lwe kuliva ewala? Muliddukira w'ani abayambe, obugagga bwammwe mulibuleka wa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango ne mu kuzikirira okuliva ewala? Muliddukira w’ani alibayamba? Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira eri ani okubeerwa? Era mulikweka wa obugagga bwammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira w'ani okufuna obuyambi? Era mulikweka wa obugagga bwammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulikola mutya ku lunaku olw'okujjirwa, ne mu kuzikirizibwa okuliva ewala? muliddukira eri ani okubeerwa? era mulireka wa ekitiibwa kyammwe?