Isaiah 10:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alitema n'embazzi ebisaka by'ekibira; Lebanoni aligwa mu maaso g'Owaamaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira; Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alitemera ddala ebisaka by'omu kibira n'embazzi, ne Lebanooni ne miti gyakyo egy'ekitiibwa kirigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alibatema n'embazzi, ng'atema emiti mu kibira wakati, Lebanooni ne kisuulibwa ow'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alimalawo n'ekyuma ebisaka eby'omu kibira, ne Lebanooni aligwa olw'ow'amaanyi.