Isaiah 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewaliba kirala, wabula okusitama mu basibe, oba okugwa mu battiddwa. Olw'ebyo byonna obusungu bwe tebunnaggwa, n'omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okuba mu abo abattiddwa. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okugwira mu abo abattiddwa. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunaabavaako, aliba akyagolodde omukono okubabonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuliba na kirala kya kukola wabula okubeera awamu n'abasibe, oba okuttirwa mu lutalo ng'abalala. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, Mukama era aliba akyabasunguwalidde, era aliba akyagolodde omukono okubonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balikutama bukutami wansi w'abasibe, era baligwa wansi w'abattiddwa. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.