Isaiah 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmusindise okulwanyisa eggwanga omutali ddiini; mmutumye okulwanyisa abantu abannyiizizza, akole ogw'okwaya, yeekuŋŋaanyize omunyago, n'okubalinnyirira ng'ebitoomi by'omu nguudo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era mmusindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage, ababbire ddala, n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era musindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage era atwalire ddala ebyabwe, abasambiririre ddala ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndituma Assiriya okulumba eggwanga eritanzisaamu kitiibwa, alumbe abantu be nsunguwalidde. Ndimutuma okunyaga ebintu by'abantu abo, okubatulugunya, n'okubalinnyirira ng'ebitoomi eby'omu nguudo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndimutuma okulumba eggwanga erivoola, era ndimulagira ku bantu baliko obusungu bwange, okunyaga omunyago, n'okunyaga omuyiggo, n’okubalinnyirira wansi ng'ebitoomi by'omu nguudo.