Isaiah 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kino si ky'agenderera, n'omutima gwe kino si kye gulowooza; ky'ayagala kwe kuzikiriza, kwe kusaanyaawo amawanga ate nga si matono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kino si kye kigendererwa kye, kino si ky’alowooza. Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza, okumalirawo ddala amawanga mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Busuli tagenderera kukola Nze kye njagala, era kino si ky'alowooza, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga agawerako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyokka Assiriya tagenderera kukola Nze kye njagala, era ye takirowoozanako, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga amangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tagenderera kukola bw'atyo, so n'omutima gwe tegulowooza bwe gutyo; naye kiri mu mutima gwe okuzikiriza, n'okumalawo amawanga si matono.