Isaiah 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akasibukira kalitutunuka ku kikolo kya Yesse, ettabi liribala okuva ku mirandira gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese, ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensibuka erimera okuva ku kikonge kya Yese, n'ettabi liriroka okuva ku mirandira gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'akatabi bwe kasibukira ku kikonge ky'omuti ogutemeddwa, ne mu bazzukulu ba Yesse bwe mulisibukamu Kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, n'ettabi eririva mu mmizi gye liribala ebibala: