Isaiah 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo ekikolo kya Yesse kiriyimirirawo ng'ebendera eri abantu; amawanga galimunoonya; era ekisulo kye kiriba kya kitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku lulituuka, asibuka mu kikolo kya Yese, aliyimirira okuba ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n'ekifo mwalibeera kiriba kya kitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lulituuka, oyo asibuka mu Yesse, n'aba akabonero eri amawanga. Amawanga ago galikuŋŋaanira w'ali, era ekifo mw'afugira kiriba kyakitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli ekikolo kya Yese, ekiyimirira okuba ebendera ey'amawanga, eri oyo amawanga gye banaanoonya; n'ekifo kye eky'okuwummuliramu kiriba kitiibwa.