Isaiah 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alisitulira amawanga bendera, n'akuŋŋaanya abaliba basaasaanye mu Yisirayeli; alikunga abantu ba Yuda abaliba babunye emiwabo ng'abaggya mu nsonda ennya ez'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri; aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Isiraeri ne mu Yuda, ng'abaggya mu nsonda ennya ez'ensi gye baasaasaanyizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ng'abaggya gye baasaasaanyizibwa mu njuyi zonna ennya ez'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliwanikira amawanga ebendera, era alikuŋŋaanya abaagobebwa mu Isiraeri, n'aleeta wamu abaasaasaanyizibwa ku Yuda okubaggya mu nsonda ennya ez'ensi.