Isaiah 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo obuggya bwa Efurayimu bulikoma, n'abalabe ba Yuda balikutulwako; Efurayimu taliddayo kukwatirwa Yuda buggya, ne Yuda taliddayo kuwalana Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo, n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuggya bwa Efulayimu buliggwaawo, n'abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya, wadde Yuda okuba omulabe wa Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuggya bw'Abeefurayimu buliggwaawo, n'abalabe ba Buyudaaya balizikirizibwa. Obwakabaka bwa Yisirayeli tebulikwatirwa bwakabaka bwa Buyudaaya buggya, ne Buyudaaya teriba mulabe wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era obuggya bwa Efulayimu buliggwaawo, n'abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya, ne Yuda taliteganya Efulayimu.