Isaiah 11:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula baliyiika ku butunnumba bw'Abafilisitiini ebugwanjuba, ate balyegatta ne banyagulula abantu b'ebuvanjuba, balissa omukono gwabwe ku Edomu ne Mowabu, n'Abammoni balibagondera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba; era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba. Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n’abaana ba Amoni balibagondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bombi wamu balirumba Abafirisuuti ebugwanjuba; balyetaba okunyaga abaana b'ebuvanjuba. Baliwangula Edomu ne Mowaabu, n'abaana ba Amoni balibagondera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balyetaba wamu ne balumba Abafilistiya ebugwanjuba, era ne banyaga abantu ab'ebuvanjuba. Baliwangula Abeedomu n'Abamowaabu, era Abammoni balibagondera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balibuuka ne bagwa ku kibegabega ky'Omufirisuuti ebugwanjuba; balyetaba okunyaga abaana b'ebuvanjuba: baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n'abaana ba Amoni balibagondera.