Isaiah 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alikaza ekikono ky'ennyanja y'e Misiri; n'ekibatu kye aliwujja ku Kiyira empewo ekaza; aligukubamu emyala musanvu, abantu basomokerewo nga bali mu ngatto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama Katonda alikaliza omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri; era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati ne guleetawo omuyaga ogukaza, agwawulemu ebitundu musanvu abantu bye banaasomokanga ku bigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alikozesa empewo ye ey'amaanyi, n'akaliza ekikono ky'ennyanja y'e Misiri. Era aligolola omukono gwe ku Mugga Fulaati, n'agwawulamu obugga musanvu, n'asomosa abantu nga tebatobye na bigere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alikozesa empewo ye ey'amaanyi, n'akaliza ddala ekikono ky'ennyanja y'e Misiri. Era aligolola omukono gwe ku Mugga Ewufuraate, n'agwawulamu obugga musanvu, abantu bwe basomoka nga tebatobye na bigere,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alizikiririza ddala olulimi lw'ennyanja ey'e Misiri; era alikunkumulira omukono gwe ku Mugga n'empewo ye ekaza, n'agukuba n'agufuula emigga musanvu, n'asomosa abantu nga tebatobye bigere.