Isaiah 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Walibaawo ekkubo ku lw'abaliba basigaddewo ku bantu be, abo abaliba basigadde mu Assuri, nga bwe kyali ku Yisirayeli lwe yayambuka ng'ava mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga eryasigala ku Bwasuli nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku lwe baaviirako mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Walibaawo oluguudo, abantu be aba Isiraeri abaasigalawo mwe baliyita nga bava mu Bwasuli, nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku luli nga bava mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne walyoka wabaawo oluguudo, abantu be Abayisirayeli abaliwonawo mwe baliyita, nga bava mu Assiriya, nga bwe waaliwo olwo Abayisirayeli mwe baayita, nga bava mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waliba oluguudo eri abo abalifikkawo ku bantu be, abalisigalawo, okuva mu Bwasuli; nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku lwe yalinnyirako okuva mu nsi y'e Misiri.