Isaiah 11:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo w'Omukama alikkalira ku ye: Mwoyo ow'amagezi n'okutegeera, Mwoyo omubuulirizi n'ow'amaanyi, Mwoyo w'okumanya n'ow'okutya Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, Omwoyo ogw'amagezi n'okutegeera, Omwoyo ogw'okuteesa n'amaanyi, Omwoyo ow'okumanya era n'okutya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo wa Mukama aliba ku ye okumuwa amagezi n'okutegeera, era n'okubuulirira. Alimuwa amaanyi era alimusobozesa okumanya Mukama n'okumussangamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw'amagezi n'okutegeera, omwoyo ogw'okuteesa n'amaanyi, omwoyo ogw'okumanya n'okutya Mukama;