Isaiah 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula abanaku alibalamula mu butuukirivu, alisalanga mu bwenkanya ensonga z'abateefu ku nsi, ensi aligikubisa muggo gwa kamwa ke, n'ababi alibassisa mukka gwa mimwa gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya, era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi; era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke, era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye anaasaliranga abaavu emisango ng'agoberera amazima, era mu bwenkanya anaasaliranga abawombeefu abali ku nsi. Aliwa ekiragiro mu nsi abantu okubonerezebwa, era ababi balittibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka anaasalanga emisango gy'abaavu ng'agoberera mazima, era anaataasanga eby'abatalina mwasirizi ng'akolera ku bwenkanya. Aliwa ekiragiro mu nsi, abantu ne babonerezebwa era ababi ne battibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye anaasaliranga omwavu emisango gya nsonga, era anaanenyanga n'obutuukirivu olw'abawombeefu abali ku nsi: era alikuba ensi n'omuggo ogw'omu kamwa ke, era alitta omubi n'omukka ogw'omu mimwa gye.