Isaiah 11:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusege gulisulanga n'akaliga, n'engo n'egalamira awo n'akabuzi, ate akayana n'empologoma biririiranga wamu; omwana omuto nga y'abikulemberamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi; era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu; era omwana omuto yalizirabirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusege gunaasulanga wamu n'omwana gw'endiga, n'engo eneegalamiranga wamu n'omwana gw'embuzi; n'ennyana n'empologoma n'ennyana ensava binaagalamiranga wamu, n'omwana omuto yalizikulembera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusege n'endiga ento binaabeeranga wamu mu ddembe, era engo n'embuzi ento binaagalamiranga wamu. Ennyana empologoma, n'ente eyassava, zinaabanga wamu ng'omwana omuto ye azirunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusege gunaasulanga wamu n'omwana gw'endiga, n'engo eneegalamiranga wamu n'omwana gw'embuzi; n'ennyana n'omwana gw'empologoma n'ekya ssava wamu; n'omwana omuto alizikulembera.