Isaiah 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky'enswera; ebbujje lirissa omukono mu nfo y'essalambwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera, n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana akyayonka alizannyira ku kinnya eky'enswera, n'omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe mu kinnya omuli essalambwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana akyayonka anaazannyiranga ku kinnya ky'enswera, n'omuto eyaakava ku mabeere, anaateekanga omukono gwe mu kinnya omuli essalambwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omwana ayonka alizannyira ku kinnya eky'enswera, n'omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukoao gwe ku mpampagama y'essalambwa.