Isaiah 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebirikola kabi, tebiritta ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, kubanga ensi eriba ejjudde okutegeera Omukama ng'amazzi bwe gabikka ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewalibaawo kikola bulabe wadde okuzikiriza ku Lusozi lwa Katonda Olutukuvu, kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Siyooni, Olusozi lwa Katonda Olutukuvu, tewaliba kikola bulabe wadde okuzikiriza, kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebaliruma newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu lwonna: kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ennyanja.