Isaiah 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo muligamba nti: “Nnaakugulumizanga, ayi Mukama, kubanga ne bwe wali onsunguwalidde, obusungu bwo bwakyuka, n'onkubagiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo oligamba nti, “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda; newaakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo abantu balyogera bwe bati, “Nnaakwebaza, ayi Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo buweddewo, kaakati onzizizzaamu amaanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo bwe lulituuka, abantu baliyimba nti: “Nnaakwebaza, ayi Mukama. Ggwe eyali ansunguwalidde, obusungu bwo buweddewo, era kaakati onsanyusizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku lunaku luli olyogera nti Naakwebaza, ai Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bukyuse, era onsanyusa.