Isaiah 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala Katonda bwe bulokofu bwange; ndi mugumu, sikyatya, kubanga Omukama ge maanyi gange, lye ttendo lyange, afuuse obulokofu bwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba Katonda bwe bulokozi bwange; nzija kumwesiga era siritya; kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Katonda bwe bulokozi bwange, nnaamwesiganga ne ssitya. Mukama Yakuwa ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era ye afuuse obulokozi bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Katonda ye Mulokozi wange, nnaamwesiganga ne sitya. Mukama Oyo ow'Olubeerera ge maanyi gange, era Ye gwe nnyimba, Ye wuuyo Omulokozi wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga ne ssitya: kubanga Mukama Yakuwa ge maanyi gange n'oluyimba; era ye afuuse obulokozi bwange.