Isaiah 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleekaane, muyimbe olw'essanyu, abasula mu Siyoni, kubanga Omutuukirivu wa Yisirayeli ali mu mmwe wakati mukulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yogerera waggulu era oyimbire waggulu n'essanyu, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyimbe n'essanyu musaakaanye mmwe abatuuze b'omu Siyooni, kubanga Katonda Omutuukirivu owa Yisirayeli, mukulu, ate ali wakati mu mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogerera waggulu oleekaane, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.