Isaiah 13:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga emmunyeenye n'ebibinja byazo, tebiriwa kitangaala kyabyo; enjuba evaayo erifuulwa kizikiza, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo tebiryaka; enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo, n’omwezi nagwo tegulyaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi nagwo tegulyaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emmunyeenye kinneemu, ne mu bibinja byazo, zirirekera awo okwaka, n'enjuba erikwata ekizikiza ng'evaayo, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi tegulyaka musana gwagwo.